top of page
Search

Obwakabaka busimidde abe Buweekula oluzzi lwa Nayikondo bafunemu amazzi amayonjo.

  • Writer: baanabakintucultur
    baanabakintucultur
  • Sep 8, 2024
  • 1 min read

Oluzzi olwogerwako lusimiddwa bannamikago aba Wells Of Life ne BUCADEF, ku ssomero lya Christ the King P/S mu Ggombolola Musaale Kiyuni nga lwakukozesebwa abatuuze ku byalo ebiriraanyewo. 


Luno lwe luzzi olwa 857 okuva enteekateeka eno etandikibwawo. 

Bwabadde alutongoza oluzzi luno, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, ategeezezza nti eno yeemu ku nkola eggyayo amakulu ga bulungibwansi abantu mwebayita okwerwanako ku bizibu ebibaluma mu bitundu byabwe.


Ababuulidde nti eno y'ensonga lwaki Kabaka ye Mufumbyaganda, kubanga atetenkanyiza abantube n'anogera eddagala ebizibu ebibaluma. Awadde eky'okulabirako eky'ensimbi ezaava mu misinde gy'amazaalibwa nti baasobola okugulira abaami be Ggombolola entambula ya pikipiki. 


Yeebazizza bonna abaatoola naabakyatoola oluwalo kubanga lweruvaamu ebibala nga bino eby'oluzzi era n'abakuutira nti ebyokuzza Buganda ku ntikko bya ddala, era naasaba banna Buweekula okwerwanako mu kuwa oluwalo lusobole okukola ku bizibu byomukitundu kyabwe. 


Omwami w'Essaza Buweekula, Oweek. Andrew Ssempijja, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olwokubafaako ku by'obulamu nategeeza nti Oluwalo abe Kiyuni lwebatwala embuga baluganyudddwamu era ebirungi byeyoleka okugeza okufunira abaana basale, kati ate noluzzi balufunye. 


Kisawuzi Derald, amyuka akolanga Ssenkulu wa BUCADEF, agambye nti oluzzi luno lugenda kumalawo e kizibu ky'amazzi agatali mayonjo mu kitundu kye Kiyuni wamu n'endwadde eziva ku bujama, era naasaba abantu bakozese amazzi gano bakuume obuyonjo.

Ensimbi ezikoze ouzzi luno zawebwayo abantu ba Kabaka mu Ssaza New England (Massachussets, Boston, Rhode Island, New Hampshire,  Connecticut, ne Vermont). Essaza lino mu kiseera kino likulemberwa Oweek Henry Ndawula, wabula tebakomye ku luzzi lwokka naye n'oluwalo nalwo baluwaayo.


Ssaabasajja Kabaka Awangaale!




 
 
 

Recent Posts

See All
Mu mpaka z'Omupiira gw'Amasaza

Mu mpaka z'Omupiira gw'Amasaza, omutendera gw'ebibinja gukomekkerezeddwa olwaleero. Amasaza 8 geesozze omutendera ogukulembera oguddirira...

 
 
 

Comments


© 2024 by Buganda Convention in Southern Africa. BUCOSA Powered and secured by Wix

bottom of page