top of page
Search

Minisita w'Ebyenjigiriza mu Buganda Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko

  • Writer: baanabakintucultur
    baanabakintucultur
  • Aug 29, 2024
  • 1 min read

Minisita w'Ebyenjigiriza mu Buganda Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko asisinkanye abakulira amatendekero wamu n'amasomero gw'Obwakabaka.

Ensisinkano eno egendereddwamu okukuba ttooci kw'ebyo ebikoleddwa, naddala oluvannyuma lwa Katikkiro okulambula n'okwekenenya entambuza y'emirimu mu bitongole bino.



Olutuula luno lubadde lwa mirundi gwa kubiri (2) omwaka guno.

Minisita asinzidde wano n'akubiriza bassenkulu okukola ennyo obutakka wansi wa bubonero buli kitongole bwe kyafuna omwaka ogwayita ate n'okwongera okutuukiriza amakatala agalagibwa mu nteekateeka nnamutayiika ey'Obwakabaka 2023 - 2028.





Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko


Ensisinkano yeetabiddwamu; Amyuka Ssenkulu wa Muteesa I Royal University, Ssenkulu wa Buganda Royal Institute, owa Kasawo Techincal Institite,  Akulira Lubiri High School Mengo,  Lubiri High School Buloba, Bbowa Vocational Secondary wamu n'abakulira amasomero g'abato okuli IREAD ALIM AND FATIMA -Bamunanika ne Kazo.

 
 
 

Recent Posts

See All
Mu mpaka z'Omupiira gw'Amasaza

Mu mpaka z'Omupiira gw'Amasaza, omutendera gw'ebibinja gukomekkerezeddwa olwaleero. Amasaza 8 geesozze omutendera ogukulembera oguddirira...

 
 
 

Comments


© 2024 by Buganda Convention in Southern Africa. BUCOSA Powered and secured by Wix

bottom of page