Katikkiro Charles Peter Mayiga atuuse mu kibuga London mu Bungereza
- baanabakintucultur
- Sep 12, 2024
- 1 min read
Katikkiro Charles Peter Mayiga atuuse mu kibuga London mu Bungereza, gyagenze okutongoza n'okwetaba mu ttabamiruka wa Bulaaya atuumiddwa Buganda Bumu Europe Convention BBECO.
Atuukidde ku kisaawe ky'ennyonyi e Gatwick ku ssaawa 12:40 era atambulidde mu nnyonyi ya Qatar Airways. Ayaniriziddwa omwami w'Essaza lye Bungereza ne Ireland Oweek. Godfrey Kibuuka Ssaalongo, ng'ali wamu n'abamyukabe; Robert Mukiibi, Janat Nabatta Mukiibi, ne Godfrey Ssekisonge, ssaako abaweereza ku lukiiko lw'essaza n'Abaami b'emiruka era ayaniriziddwa mu ssanyu eryenjawulo.
Kamalabyonna ajja kukola emirimo egy'enjawulo okuli; okutongoza ttabamiruka n'okumuggulawo, ssaako okutuuza Ow'Essaza Bungereza ne Ireland n'okulayiza olukiiko lw'essaza.

Katikkiro awerekeddwako; Omumyuka w'omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda, Oweek. Ahmed Lwasa , Baminisita okuli, Oweek. Anthony Wamala, Oweek. Hajj Amis Kakomo, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke ssaako abaweereza b'Obwakabaka abalala.
Comments