Katikkiro alambudde ekitongole ky'obwakabaka eky'ebyempuliziganya ki BBS Terefayina.
- baanabakintucultur
- Sep 6, 2024
- 1 min read
Katikkiro alambudde ekitongole ky'obwakabaka eky'ebyempuliziganya ki BBS Terefayina okwongera okwekenneenya entambuza y'emirimu nokubaako ebigambo by'enkulakulana byategeeza abakozi mu kitongole.
Asookedde mu Woofiisi ya Ssenkulu naateeka omukono mu kitabo ky'abagenyi oluvannyuma naasisinkana Bboodi wamu n'abakulira abakozi nebeegeyaamu mu mboozi eyakafubo, awo wavudde n'alambula buli kitongole eky'omunda omuli, eky'amawulire, ekyeby'ensimbi, ebiweerezebwa ku mpewo, ekya tekinologiya, ne studio omuweerezebwa ebigenda obutereevu ku mpewo.
Mu bubaka bwe eri abakozi, Katikkiro abasabye bafube nnyo okwekuumira ku ntikko banyweze ekifo ekisooka awatali kuwa balala mwagaanya.
Abakubirizza okunnyikiza olulimi oluganda kubanga Terefayina yazimbibwa ku musingi gwa lutumbula lulimi luganda era abalabi awo webasaanidde okujimanyira. Mu buufu obwo ayagala bongere amaanyi mu by'amawulire naddala emiramwa egiyamba abavubuka mu by'ensanyusa, ebyenjigiriza, ebyenkulaakulana, eby'obulimi, neby'obuwangwa.
Minisita waamawulire, okukunga era omwogezi w’Obwakabaka, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, asabye abakozi ba Terefayina obutasuulirira nsonga za bwakabaka wabula beenyigiremu mu nteekateeka zonna naddala okwanganga abo abavvoola Nnamulondo.

Kulwa Bboodi, Omuk. Micheal Kironde, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olwokutandikawo Terefayina esobodde okuwa abantu emirimu naddala abavubuka.
Ategeezezza nti mu myaka 8 BBS esenvudde era kati mu Buganda ne Busoga yekulembedde nga kati baluubirira okubeera ku ntikko ya Terefayina zonna mu Uganda.
Comments