top of page
Search

First Buganda Convention in Southern Africa!

  • Writer: baanabakintucultur
    baanabakintucultur
  • Sep 8, 2024
  • 1 min read

Amasaza agali mu Southern Africa, omuli Capetown, Johannesburg, wamu ne Eswatini gakutusaako Buganda Convention in Southern Africa (BUCOSA), oba tugiyite Ttabamiruka. 

Ttabamiruka ono agenda kubaawo okuva nga 8 okutuuka nga 10 November 2024. Ttabamiruka agenda kubeera ku Lagoon Beach Hotel e Capetown. Omugenyi omukulu ye Kkamalabyonna, Oweek. Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayega.



Okwewandiisa olina okusasula R600 okuva kati mpaka 15 September, R700 okuva nga 16 September okutuusa nga 15 October. Okuvaawo osasula R800. Abava munsi endala bbo bakusasula $200. Esente ezo zosasula ziriko enkyenkya n'ekyemisana nga 9 November 2024.

Mwenna Abaganda, BannaUganda, wamu n'abagaliza obwa Kabaka bwa Buganda ebirungi,  tubakowoola mutwegatteko. Okumanya ebisingawo, ab'Essaza lya Johannesburg mukubire Ssenga Judy ku +27 84 299 7844 oba Dj Maple Julio +27 64 285 9807;  ab'Essaza lya Capetown, mukubire Mrs. Mariam Nandyose Mukisa +27 61 058 2760 oba Mrs. Loyda Kateregga ku +27 73 092 8112. Ate ab'Eswatini, Lesotho, Namibia, wamu ne Zimbabwe, mukubire Oweek. Paul Mulindwa ku +268 7602 2415.



Ebikwata kunsasula y’okwewandisa, kubira Oweek. Dennis Lugolobi ku +27 83 331 6488, Ssenga Judy ku +27 84 299 7844 oba Mr. Umar Mwebe ku +27 78 330 1429.



Ssaabasajja Kabaka Awangaale.

 
 
 

Recent Posts

See All
Mu mpaka z'Omupiira gw'Amasaza

Mu mpaka z'Omupiira gw'Amasaza, omutendera gw'ebibinja gukomekkerezeddwa olwaleero. Amasaza 8 geesozze omutendera ogukulembera oguddirira...

 
 
 

Comments


© 2024 by Buganda Convention in Southern Africa. BUCOSA Powered and secured by Wix

bottom of page