Buweekula
- baanabakintucultur
- Sep 10, 2024
- 1 min read
Mu kaweefube wokwagazisa abantu ba Kabaka okujjumbira okuwayo oluwalo, Ggombolola ya Musaale Kiyuni mu Ssaza Buweekula, yassaawo enkola y'okugaba ebirabo eri Omuluka n'omuntu asukkulumye ku balala mu kuwayo oluwalo olungi. Ku mulundi guno Muky. Nabuuso Christine yeyasinga n'oluwalo lwa mitwalo nsanvu mu lukumi (701,000/=)
Ono aweereddwa enkoko n'ebirabo ebirala agende awuutemu ssupu. Ebirabo bimukwasiddwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, e Kiyuni.

Omuluka gwa Ssaabagabo Katente gwe gwasinga emirala mu Ggombolola eyo era nabo baweereddwa ebirabo ebyakwasiddwa Omwami wa Kabaka atwala Omuluka ogwo.
Minisita Kawuki asanyukidde enkola eno naagamba nti yakwongera okuleetawo okuvuganya okwamaanyi mu bitundu nokwongera okulinnyisa ku bungi bw'oluwalo oluva mu Ssaza Buweekula olwo obwakabaka nebusobola okubateekerateekera obulungi.
Comments