Bannakyaggwe bakiise Embuga n'oluwalo olw'ensimbi ezisobye mu bukadde 23
- baanabakintucultur
- Sep 8, 2024
- 1 min read
Ku lwa Katikkiro Mayiga, oluwalo luno lutikuddwa Oweek. Mariam Mayanja Nkalubo, Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n'ekikula ky'abantu era ono asabye abakulembeze mu Bwakabaka okwongera amaanyi mu kukuuma ensallosalo z'ettaka lya Buganda ate n'okwongera okutuusa obuweereza ku bantu ba Kabaka, babakubirize okutambulira mu buufu bwa Nnyinimu olwo ne Nnamulondo eyongere okunywera.
Oweek. Mariam Mayanja wano era waasinzidde n'akubiriza abantu okulima emmwanyi kubanga balabyeko ku bazirimye nga bazifuniddemu ddala, bwatyo akubirizza Bannakyaggwe nabo okunyiikira okulima emmwanyi kibayambe okweggya mu bwavu.
Omumyuka Owookubiri owa Ssekibobo Omw. Katende Fred Kangave yaakulembeddemu Bannakyaggwe okukiika Embuga era ono yeyanziza nnyo Ssabasajja Kabaka olw'eddwaaliro erizimbibwa erudda eyo, erigenda okuyambako mu kutuusa obujjanjabi obw'omutindo ate nga busoboka eri abantu ba Kabaka. Asuubiza nti Bannakyaggwe baakwongera okunyikizza okulima emmwanyi n'amatooke okwegobako obwavu n'enjala.
Abakiise Embuga bavudde mu Ggombolola okuli; Mut. II Najjembe,
Mut. V Nyenga, Mut VIII Kkoome, Mut. VI Kasawo.
Ssabasajja Kabaka Awangaale!

Comments