top of page
Search

Bannagomba, Ssingo ne Bannabutambula batutte oluwalo mu Bulange ku Lwokuna nga 29/08/2024.

  • Writer: baanabakintucultur
    baanabakintucultur
  • Aug 29, 2024
  • 2 min read

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Abaami ba Kabaka yonna gye bali okuyambako okulambika abantu ba Kabaka basobole okusigala nga bali bumu.

Obubaka buno Kamalabyonna abutisse Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika bw’abadde amukiikiridde ku mukolo gw’okutikkula Bannagomba, Ssingo ne Bannabutambula oluwalo mu Bulange ku Lwokuna.

Mu babaka buno Katikkiro Mayiga ategeezezza nti singa bano bayamba okunyweza obumu  mu bantu ba Kabaka olwo Obwakabaka bujja kusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwo.



Mukuumaddamula  abeebazizza olwengeri gyebatambuza emirimu gyabwe n'abasaba okukubiriza abantu mu bitundu byabwe okwongera okwettanira enteekateeka za Beene.

Ono era akubirizza abagoba b’ebidduka naddala abasaabaza abantu mu mipiira gy’amasaza okugoberera amateeka g’ebyenguudo bwatyo nasaasira ab’enganda zaabo abafiira mu kabenje nga bava e Gomba okuwagira omupiira.

 Ku lulwe, Owek Bwanika akunze Abaami ba Kabaka mu ggombolola n’Amasaza gonna okufaayo okukuuma ebiwandiiko era bafube okwebuuza ku nsonga zonna ezikwata ku ttaka era beewale okwetaba mu mivuyo gy’ettaka gyonna.

 Owek. Bwanika abantu abasabye okwanganga abantu abavvoola Nnamulondo era bayambeko okubunyisa ebituufu ebiva Embuga ssaako n’okunyweza ensonga ssemasonga ettaano.



Ono alabudde abavubuka ku nkozesa embi ey'emitimbagano n'abasaba okwegendereza obubaka bwe bawuliriza okusobola okwewala okuwubisibwa abaagala ebyonoonese.

Akiikiridde  Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Israel Kazibwe Kitooke yeebazizza abantu be Gomba olw’okubeera abajjumbize eri enteekateeka z’Obwakabaka ezireetebwa okutumbula embeera zabwe.



 Owek. Kazibwe Abaami abaggya ab’eggombolola n'emiruka abasabye okukola obulungi emirimu gyabwe era baweese Nnyinimu ekitiibwa gye bawangalira.

Omwami wa Kabaka atwala essaza Gomba, Kitunzi Mugabi Fred Williams akubirizza Obuganda bwonna okunyweza obumu mu buli nsonga, n'abasaba okusinganamu ekitiibwa, n’okugumikirizigana olwo basobole okuzza Buganda ku ntikko.

Oluwalo oluleeteddwa lubalirirwamu obukadde obusoba mu 54 (56,976,300) nga eggombolola ezisoba mu mukaaga ze zikiise Embuga nga okubadde Ssaabagabo Kabulasokke enywedde mu ndala akendo n’oluwalo lwa bukadde 15,370,000 n'eddirirwa Ssaabawali Kyegonza n’obukadde 8,494,300.



 
 
 

Recent Posts

See All
Mu mpaka z'Omupiira gw'Amasaza

Mu mpaka z'Omupiira gw'Amasaza, omutendera gw'ebibinja gukomekkerezeddwa olwaleero. Amasaza 8 geesozze omutendera ogukulembera oguddirira...

 
 
 

1 commento


Nicholas Ssemugabi
Nicholas Ssemugabi
05 set 2024

wow this was reallly insightfulll

Mi piace

© 2024 by Buganda Convention in Southern Africa. BUCOSA Powered and secured by Wix

bottom of page