Abasinze okujjumbira Oluwalo mu Buweekula baweereddwa ettu
- baanabakintucultur
- Sep 10, 2024
- 1 min read
Bya Gerald Mulindwa
Kiyuni – Buweekula
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Balikuddembe Kawuki akunze abantu ba Kabaka okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka bongere okuzimba Buganda n’okutumbula embeera zaabwe.

Obubaka buno Minisita Kawuki abuweredde mu Ggombolola ya Musaale Kiyuni mu Buweekula, bw’abadde akwasa Omuluka n’omuntu eyasinze okuwaayo Oluwalo olulungi mu nkola y’okwagazisa abantu okuwagira emirimu gy’Embuga.
Omukyala Muky. Nabuuso Christine yeyasinze ku mulundi guno nga ono yawaayo ensimbi eziwera emitwalo nsanvu mu lukumi (701,000/=).
Ono Owek. Kawuki amuwadde enkoko n’ebirabo ebirala agende awuutemu ssupu.
Omuluka gwa Ssaabagabo Katente gwe gwasinga emirala mu Ggombolola eyo era nabo baweereddwa ebirabo ebyakwasiddwa Omwami wa Kabaka atwala Omuluka ogwo.
Owek. Kawuki asanyukidde enkola eno naagamba nti yakwongera okuleetawo okuvuganya okwamaanyi mu bitundu nokwongera okulinnyisa ku bungi bw’oluwalo oluva mu Ssaza Buweekula olwo obwakabaka nebusobola okubateekerateekera obulungi.
Comments